2 Chronicles 17:3-6

3 a Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali, 4 bnaye yanoonya Katonda wa kitaawe, era n’agoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri. 5 cMukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene. 6 dOmutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda.

Copyright information for LugEEEE